Bwabadde ayimba missa mu makka g’omugenzi Louis Michael Kasujja eKitala mugombolola y’eKatabi, sabasumba ow’esazza ekulu ery’eKampala Paul Ssemogerere akuutidde abazadde nadala kuludda lwabawala abakandiriza obufumbo obutukuvu nga basaawo embera ey’okusaba ebintu ebisuse gwe wama nekiretera abamu okutawanyizibwa ate nabalala nebalemererwa okufumbiriganwa.
Sabasumba agambye nti teri ayina buyinza kutunda muntu ng’ebyamaguzi kumidaala kubanga tewali muwendo gujja mu muntu yena n’olwekyo n’asaba abazadde nadala abagufuula omugano okusalira abalenzi ebintu enkuyanja okukikomya awamu nobutatekawo mizziziko mubulamu bw’abaana babwe.
Sabasumba ayongeddeko nti obufumbo tebukulemberwa sente wabula okwesigangana awamu n’okutegeragana wakati w’abo abesowoddeyo okuumagana mubuli mbeera.
Mungeri y’emu sabasumba Paul Ssemwogerere akinoganyiza lwatu nti ensangi zino abantu abamu baweddemu e’nsa, awonno weyasinziridde okuutira abazadde okukuza abaana mu ddiini kibasobozese okukula nga batambulira mumakubo amatuufu nga ekereziya bw’erambika.
Omukulu w’esazza ekulu ery’eKampala era asinziridde awo n’asaba abasomesa okukugira okubiriza abaana kubanga okugunjula abaana tekisinziira kubakuba wano weyaweredde ekyokulabirako eky’eyali omusomesa we kati omugenzi Louis Michael Kasujja gweyayogeddeko nti yali mukwano gwabaana nga n’ebyasomesa babikwata bulunji lwansonga nti baali tebamutya wabula nga bamwetanira.
Wakati mukusaba kuno sabasumba abatirizamu abaana 4 era bwebatya nebayingizibwa mukisibo Kya krisitu nga abakatoriki abajuvu.