Eyakiikiridde Uganda mu Mpaka za Quran eDubai akomyewo mu bitiibwa

Swabra Aziiza, omuyizi ku Zuhurah Education Centre era nga muwala wa Dr. Haruna Kigongo ne Aisha Namukwaya yakomyewo kubutaka oluvanyuma lwokukwatira Uganda bendera mumpaka z’okusoma Quran ezayindidde mu mwoleso ogwa Dubai Expo, mu kibuga kya Dubai.

Aziiza yatutegezeza nti buli kimu kyatambudde bulunji gwe wamma, nga Uganda yajikikiridde mungeri enunji era neyebaza bazadde be okumukuliza mu ddiini eyobuyisiramu awamu n’okumwagazisa okusoma Quran ekyamusoboseza okulyamu bawala banne olwendo wano kubutaka, olwo n’asobola okwatira Uganda bendera kumutendera gwensi yonna.

Swabura Aziiza

Ono yakomeddewo mu nyonyi ey’ekika kya Fly Dubai awamu n’omusomesa we Sheik Muniir Edriis Mabiriizi gweyagenda naye eyatutegezezza nti Swabra yafunamu okutya olwensonga nti gwegwali omulundi gwe ogusooka okusoma Quran kumutendera gwensi yona naye era tekyamulobedde kukiikirira nyaffe Uganda mungeri eweesa ekitiibwa.

Mwana muwala Swabra ku kisaawe Entebbe yayanirizidwa Omumyuuka wa Mufti Sheik Abdallah Ssemambo, abenganda saako n’emikwano. Sheik Ssemambo yebazizza bonna abaakwatiddeko omwana ono naddala bazadde be saako n’abasomesa abaamuteekateeka n’asobola okukiikirira nyaffe Uganda mungeri ennungamu kumutendera gwensi yonna.

Wabula, ono yalaze ennyiike kubikolwa ebyobutujju naddala ebya bbomu ebitadde nnyo bana Uganda kubunkenke nga n’abamu balusuddemu akaba. Mubuwufu obwo, yavumiridde nnyo bonna abateeka ekkobaane ly’obutujju ku ddiini y’obusiramu nti, kikyamu kubanga eddiini tekkiriza kutta awamu nokulumya omuntu yenna.

Dr. Kigongo nga ye taata wa Aziiza, eyabadde omusanyufu ennyo yebazizza omumyuka wa Mufti okukkiriza okwaniriza muwala we kukisaawe eNtebe ate era n’asiima nnyo muwala we obutamuswaza gwe wamma ate nayongera kumuwesa kitiibwa.

Aisha Namukwaya, akulira ekibiina ekitwala abakyala munsi eno ekya Uganda Muslim Women Vision, yakubirizza abaana bona naddala abawala okweyambisa ekiseera kino ng’eggwanga likyali ku muggalo gwa COVID-19, okuyiga Quran era n’ayongera okusaba abazadde okuwagira abaana baabwe naddala abawala nga babawereza ku senta yabwe okubayigiriza ekitabo ekitukuvu ekya Quran awamu neneyisa yobusiramu basobole okubeera abantu obobuvunanyizibwa awamu nokukolerera eggulu nga bavudde mubulamu bwensi eno.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *