Sabalabirizi w’abasodokisi omuggya atuzibwa ku ssande

Kinajukirwa nti bishop Yona Lwanga nga ono y’eyali sabalabirizi wa Kampala awamu ne Uganda yafa mumwezi ogw’omwenda omwaka oguwedde 2021 bweyali atwalidwa emitala w’amayanja mukibuga Athens eky’egwanga lya Buyonaani okufuna obujanjabi

Bishop Makarios ne bishop Innocentios nga bano bebasindikidwa Papa Patriarch owa Alexandria ne Africa Fledius (ii) okutuuza sabalabirizi wa Kampala, omulabirizi wa Jinja awamu n’oweGulu banirizidwa omulabirizi omugya bishop Jeronimos Muzeeyi awamu nebanadini ab’enjawulo okuva munzikiriza eno

Bwabadde ayaniriza abalabirizi bano kukisaawe ky’enyonyi Entebbe, omulabirizi agenda okutuuzibwa kunamulondo y’obwasabalabirizi bwa Kampala awamu ne Uganda bishop Jeronimos Muzeeyi akuunze bana Uganda bona nadala abasodox okubeeyungako ate awamu n’okubasabira emikolo gino okutambula obulunji

Sabalabirizi wa Nairobi bishop Makarios nga ono mungeri ey’enjawulo y’abadde akuuma entebbe y’obwasabalabirizi bwa Kampala awamu ne Uganda mubigambo bye alaze esanyu olwomukwano gwa banaUganda okuviira dala nga akyasomerawo kumulembe gwa sabalabirizi Adriaman era n’asaba enkolagana eno yeyongerere dala neku sabalabirizi omugya nga bwegwali neku sabalabirizi Yona Lwanga.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *