E’ntekateeka za pikipiki z’empaka ku kisawe kya pikipiki ne motooka z’empaka e Garuga era nga abavuzi abenjawulo bagenda kwetaba mumpaka zino ezimanyidwa nga East African Championship ezigenda okubaayo ku Easter Sunday e Galuga era nga w’etwogerera abavuzi okuva wano bali mukutendekebwa okwakaasa meeme awamu n’okwegezaamu nga betegekera okwolesenganya obwenyi n’abavuzi okuva mumawanga agakola East Africa.
Arther Blick Junior nga ono muvuzi wa pikipiki awamu n’emotoka z’empaka gw’etusanze mukwegezaamu atutegezeza nti bali mukutendekebwa okwamanyi basobole okusigaza obuwanguzi bw’empaka zino wano kubutakka era nti bakuvuganya mumitendera egyenjawulo okuli MX1 , MX2 nemitendera emirala mingi nga mwemuli n’abaana abatto ate oluvanyuma bavuganye ne mumotoka z’empaka kulunaku lw’erumu.
Agenze mumaaso nagamba nti mukiseera kino bakoze kunsonga ze byokwelinda nga obukuumi nadala eri obulamu bw’abantu kisonsowazidwa nyo nga mwemuli n’ebyo ebinasobola okutangira abawagizi okuyingira pikipiki ne motooka weziyita kubanga abantu babetaaga balamu.
Mungeri y’emu asabye bana Uganda bona okubeerawo babawe obuwagizi bwabwe gwe wama kibasobozese okuwangula empaka zino.
Arther Blick Junior atutegezeza nti basuubira abavuzi okuva mumawanga agakola East Africa okuli Kenya, Tanzania awamu ne Uganda era nga empaka zigenda kubeera z’amanyi nyo.
Jimmy Akena atutegezeeza nti alinamu obuvune obutonotono naye asuubira nti wetunatuukira ku lunaku mulindwa olw’empaka ajakuba ateredde bulunji okusobola okuvuganya kumutendera gwa masters mumpaka zino ezigenda okubeera e Galuga ku Easter Sunday.
Kinajukirwa nti empaka zino zibeerawo buli mwaka nga era z’etabibwaamu abavuzi okuva mumawanga agakola East Africa nadala Uganda, Kenya ne Tanzania.