Katikkiro Charles Peter Mayiga ajaguza emyaka 12 okuva Kabaka lwe yamusiima amulamulireko Obuganda.
Wakati ku mukolo ogw’ategekedwa mu kujaguza kuno, Katikkiro yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesigisa Ddamula emyaka 12 kati, era amwebazizza n’olwokumuluŋŋamyanga buli kiseera mu nsonga ezitali zimu.

Wano era yebazizza n’Abolulyo Olulangira olw’okumuwagira mu nsonga ezitali zimu.
Mungeri y’emu Kamalabyonna yebazizza Kabineeti ya Kabaka gy’atambudde nayo mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa Kabaka bwe yamukwasa, ne yebaza Abataka abakulu Ab’obusolya, Abaami Ab’Amasaza Bassenkulu b’ebitongole n’Obuganda bwonna olw’okumuwagira mu mirimu gyonna egikoleddwa mu myaka 12.
Mubuufu bw’ebumu Katikkiro yebazizza mukyala we, abaana, abooluganda n’emikwano bagambye nti babadde mpagi nkulu okumusobozesa okukola obuweereza eri Kabaka obulungi.
Katikkiro wano era atongozza ekitabo kye ekipya “KABAKA KU NNAMULONDO” kye yavvunudde okuva mu kye yasooka okuwandiika kye yetuuma “King on the Throne”.

Ategeezezza nti kino kirimu essuula 15 era kirimu n’ebipya bingi ebibaddewo okuva eky’oluzungu lwe kyasooka okufuluma.
Katikkiro akubirizza abantu okuwandiika ebitabo ebikwata ku bulamu bwabwe, bye bakoze ne bye balabye, baleme kuleka balala kubawandiikira, ono agamba nti kino kijja kuyamba nnyo amagezi okutambuzibwa ebyasa n’ebyasa.
Katikkiro Mayiga asabye Obuganda bwonna, ne mu myaka 13 gy’atandise okutambulira awamu naye, wakati mu kuwaŋŋana amagezi n’okuyambagana okunyweza obumu n’okunyweza Nnamulondo olwo ne Buganda edde ku ntikko.

Omwami w’Essaza Bulemeezi Kangaawo, Owek. Ronald Mulondo yabadde Omwogezi o’wenjawulo, era afunzizza ebyo Katikkiro by’asobodde okukola mu myaka 12 omuli okusitula ekitiibwa kya Buganda, okutumbula enkulaakulana mu Buganda mu byobulimi, ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyemizannyo, Ebitone, abavubuka n’ebirala.